Maama eyeyimirira mutabani we namulema okuzza mu Kkooti bamusindise ku alimanda
Maama amaaso gamumyuukidde mu Kkooti y’Omulamuzi wa Mwanga II oluvannyuma lwokusindikibwa ku alimanda lwakulemererwa kuleeta mutabani we mu Kkooti gweyeyimirira nabbulawo.
Mutabani we Tumwine Moses yomu ku bantu 9 abakwatibwa nebasimbibwa mu Kkooti mu 2023 nebavunaanibwa omusango gwokusaasanya obubaka obwobulimba ku Musumba w’Abalpkole owa Lubaga Miracle Cathedral, Robert Kayanja.
Bya Christina Nabatanzi

