Maama asse abaana be 2 naye neyetta lwa musajja

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Kitalo!
Waliwo omukazi asazeewo okwetuga awamu n’abaana be babiri ow’myezi 4, n’owemyaka 4. Ekikangabwa kino kigudde ku kyalo Bwetyaba Ntooke mu Disitulikiti y’e Kayunga, Nakato Sylivia 27, asazeewo okweyimbamu ogw’akabugu awamu n’abaana be bano ababiri. Wabula nga tanetuga asoose kutuga abaana be bano okuli,Nanfuka Jemima 4, n’oluvannyuma n’akira Jowan Nakabuye ow’emyezi 4 naye n’amutuga.
Ono Nakato yasoose kukuma ku bintu byonna eby’omunnyumba omuliro nebisaanawo. Kigambibwa nti ekiviriddeko omukyala ono okwetuga kidiridde okufuna amawulire nti omwami we Kasimbi Patrick nga muvuzi wa booda booda e Bukolooto mu Kayunga Town Council nti yandiba nga yafunyeeyo omukyala omulala.
Share.

Leave A Reply