LUMBUYE MULAMU ERA AKYALI TURKEY – HON. NKUNYINGI

Omubaka wa Kyaddondo East Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Nkunyingi Muwada era nga ye Minisita ow’ekisiikirize avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’eggwanga avuddeyo nategeeza nga bwazudde Fred lumbuye kajjubi gyakuumirwa.
Ono avuddeyo ku mukutu gwe ogwa Facebook nategeeza nti nga ali wamu ne Munnamateeka Munnansi wa Turkey Adnan bwebagenze ku kifo webakuumira abagwira ekya KOCAELI VALILIGI Foreigners Detention Centre gyebasanze Lumbuye nga gyakuumirwa.
Muwada ategeezezza nti Lumbuye mulamu nti era amutegeezezza nti amugambye nti bamutegeeza nti wakukuumirwa wano okumala emyezi 6. Nti era amanyi agyakuteebwa nti era bwekinaaba kisobose atwalibwe mu nsi endala etali Yuganda nti era ebisingako awo abyesigalizza.
Muwada era ategeezezza nti ekyanaku tebamukiriza ssimu, okuwandiika ebbaluwa yadde okumukuba ekifaananyi kuba okusibirwa kwe mu kifo ekyo kulondoolwa Gavumenti ya Turkey nti era ekirungi babawabudde nga Bannamateeka kyebayinza okukola okulaba nti byayagala biteekebwa mu nkola.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply