Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 479 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Bobi Wine Poliisi emuwerekeddeko okutuuka ewuwe – Patrick Onyango

October 5, 2023 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine bwatuuse obulungi mu Ggwanga ngava emitala w’amayanja nti era abebyokwerinda bamuwerekeddeko okumutuusa mu maka ge e Magere Kasangati. Onyango yebazizza abebyokwerinda abakozi omulimu omunene okukuuma Eggwanga okulaba nti lisigala nga ttebenkevu.