Lukwago ayagala Gavumenti emuliyirire obukadde 700

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Loodi Meeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago ayagala Gavumenti emuliyirire obukadde lusanvu(700) obwa ssente za Yuganda olwa Police okumutulugunya eggulo bweyabadde emuyoola okuva mu makaage e Wakaliga eggulo mu bwegugungo obwabaddewo ng’abantu bawakanya eky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezideti.

Lukwago abadde ne Dr. Kizza Besigye mu lukungaana lwa Bannamawulire ku luguudo Katonga mu Kampala n’ategeeza nti okukuba omulanga kweyakoze kyavudde ku baserikale ba Police kumukuba kikonde mu kabutobuto wamu n’okumunyiga ebitundu bye eby’ekyama era ategeezezza nti amalirizza okuwandiikira Ssabawolereza wa Gavumenti .

Share.

Leave A Reply