Kusaasira ali mu maziga, DPC agadde ekivvulu kye

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omuyimbi Catherine Kusasira Sserugga ali mu miranga oluvannyuma lwa DPC okuggalawo ekivvulu kye. Kusaasira alajanidde IGP ne DIGP wa Uganda Police Force okuvaayo mu bwangu bakole ku DPC Kamujebe, ono agamba nti bwoggalawo ekivvulu kya Catherine Kusasira oba nga agaddewo ekivvulu kya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kuba ye wa National Resistance Movement – NRM.
Ono agamba nti ye tazanyirwako, balekerawo okumuyisaamu amaaso. Agamba nti eno Gavumenti yaabwe, asaba obubaka bwe butuuke ewa Gen. Saleh, Gen. Nalweyiso. Ono agamba nti yewuunya okuba nga okuwagira Museveni musango, bandibadde bakikola omuntu omulala atali ye Kusaasira. Ayagala ne Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba ayingire mu nsonga eno. Vidiyo gifune wano; https://youtu.be/yz2dcV9WyLY
Share.

Leave A Reply