Kkooti y’amaggye tesobola kuwa nsala y’amazima nabwenkanya – Omulamuzi Bamugemereire
Omulamuzi Catherine Bamugemereire mu nsala ye agamba nti yandiyimirizza emisango gyonna egigenda mu maaso mu Kkooti y’Amaggye okuleka egyo egyokubonereza abasirikale abakyali mu maggye oluvannyuma lwokugizuula nti ekontana ne Ssemateeka era tesobola kuwa nsala yamazima nabwenkanya nga obuwayiiro 28(1) ne 44 obwa Ssemateeka bwebukirambika. Ono awabudde nti wabeewo okukola enongosereza mu UPDF Act. Ono era ategeezezza nti Omusirikale yenna azza omusango ku bantu babulijjo alina kutwalibwa mu Kkooti eyabulijjo.
Bya Christina Nabatanzi

