Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Kkooti eyimirizza okukola oluguudo lwa Kabuusu – Bunnamwaya- Lweza

Kkooti Enkulu mu Kampala evuddeyo neyimiriza okukola oluguudo lw’obuwumbi 97 oluweza kiromita 8.06 olwa Kabuusu – Bunnamwaya- Lweza oluzimbibwa Kampala Capital City Authority – KCCA oluvannyuma lw’omutuuze Rashid Ssenyonjo Musisi, nga mutuuze w’e Bunnamwaya eyavaayo ku ntandikwa y’omwaka guno natwala KCCA mu Kkooti nga agamba nti bwebaali batandika okukola oluguudo luno basalimbira ku ttaka lye nga tabawadde lukusa.
Deputy Registrar, Flavia Nabakooza yalagidde okukola oluguudo luno kugira nga kuyimiriramu okutuusa omusango guno bwekunaggwa. Ssenyonjo agamba nti abakola oluguudo bayingira mu ttaka lye erisangibwa e Kyadondo block 267 plot 195, 196 ne 197 e Lweza.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort