Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Weekend Taxi ▶ UP NEXT Simba Sports 2:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 327 listening Simba FM Live
weekend show photo

On Air

Weekend Taxi

Brenda Nansubuga

12:00 PM - 2:00 PM 12:00 PM - 2:00 PM

Poliisi y’e Ntinda ekutte basatu ababbira ku ATM

June 21, 2018 · Mubiru Ali

Abantu 3 ababadde begumbulidde okubbira ku ATM nga bano kigabibwa bwebabadde ku Bank of Africa e Ntinda befudde abayamba Ayesige nga ATM Card ye yabadde egaanyi okukola nebagikyuusa nebamuwaamu eyekiccupuli.

Kigambibwa nti bano oluvannyuma bagyayo ssente obukadde 10 mubudde n’ebifo eby’enjawulo. Ebifaanayi okuva ku CCTV camera byalaze Olivia Naiga 30, Ben Kato 37, ne Sande Kibuuka Ssaalongo 40, nga ono mubbi wa lulango mu bbanka ez’enjawulo.

Bano babadde banoonyezebwa Poliisi ku misango gyekuusa kukubbira mu bbanka era nga kati bakuumirwa ku Poliisi ya Kira Road. Okukwata bano kidiridde okukwatibwa kwa Tony Muyingo, Mukiibi Hassan ne Etunu Denis nga bano nabo babbi balulango mu bbanka ez’enjawulo.