97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Kkooti eragidde Omubaka Nandutu okweyanjula gyeri awatali kulemererwa

Kkooti Evunaana abali b’Enbguzi n’abakenuzi olunaku olwaleero eyisizza ekibbaluwa kibakuntumye eri eyali Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Agnes Nandutu, kubyekuusa ku kubuzaawo amabaati agaali ag’abantu abayinike e Karamoja oluvannyuma lwokulemererwa okulabikako mu Kkooti kati enfunda 4.
Acting Principal Judge Justice Jane Okuo Kajuga, ayagala Omubaka Nandutu okulabikako mu Kkooti nga 24 July annyonyole lwaki akakalu ka Kkooti kweyayimbulirwa tekasazibwamu.
Omulamuzi era alagidde abamweyimirira nebakakasa Kkooti nti gajja kuleeta Nandutu okuli Omubaka wa Bulambuli Elgon North Gerald Nangoli, owa Budadiri West Nandala Mafabi, ne Ssentebe wa Disitulikiti y’e Bududa Milton Kamooti abatabaddeewo mu Kkooti okulabikako.
Kkooti okuyisa ekiragiro kino kiddiridde omuwaabi wa Gavumenti David Bisamunyu okusaba Omulamuzi amuyambe oluvannyuma lwa Bannamateeka ba Nandutu okutegeeza nti mulwadde.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply