kkooti ejurirwamu yejjeereza Kazinda

Kkooti ejurirwamu yejjeereza eyaliko Principal Accountant mu offiisi ya Ssaabaminista Geoffrey Kazinda, omusango gw’okusangibwa n’ebintu bya Gavumenti (Ssecurity Paper). Ono yasalirwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 5 mu 2013 lwakukozesa bubi offiisi ye, n’emyaka ebiri lwakujingirira biwandiiko.
Ono era yasalirwa ekibonerezo ekirala kyakusibwa emyaka 2 lwakusangibwa n’ebintu bya Gavumenti nga tabirina mu mateeka.
Abalamuzi bwabadde bawa ensala yaabwe mu kkooti ejurirwamu; abalamuzi Geoffrey Kiryabwire, Stephen Musota ne Percy Tuhaise bonna basizza kimu nga nkuyege nti Kkooti evunaana abakennuzi wamu n’abali b’enguzi nti yasingisa Kazinda emisango mu bukyaamu.
Bagambye nti kyali kikyaamu okusingisa omuntu omusango nga osinziira ku ‘Security Paper’ etasangibwa wuwe wabula nga yaleetebwa nga ekyokulabirako ekyali kyoleka okusaba kwokuweereza ensimbi mu kaseera akakasandali.
Okusinziira ku balamuzi, Kazinda teyalina kuvunaanibwa musango gwakusangibwa na bintu bya Gavumenti kuba yali tanawaayo offiisi mu biseera webakolera okwaza amakaage.
Abalamuzi era bateegezezza nti Abasirikale abayaza amaka ga Kazinda tebalina kiwandiiko kitongole kibakiriza kwaza makaage ng’ate ne Search Certificate twakwaliko mukono gwa SOCO webakolera bino okutuuka n’okukimayo ebiwandiiko byonna byebakozesa okuluma Kazinda.
Abalamuzi balagidde Kazinda ateebwe embagirawo okuleka nga waliwo ensonga endala eri mu mateeka eyinza okuba nga emukwasa. Wabula bagenze okumwejeereza Kazinda yali yamalako dda ekibonerezo kye eky’emyaka 5.
Wadde nga yejeerezeddwa Kkooti ejulirwamu era neragira ateebwe, Kazinda aziddwayo ku meere e Luzira amaleyo ekibonerezo kye eky’emyaka 5 ekyamuweebwa mu 2017 olw’okwekobaana n’abalala banyage amafuta ga Gavumenti agabalirirwamu obukadde 316 nga gaali ga motoka eziduukirira abali mu kaseera akakanyigo.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply