Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 320 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Kitalo! Omusajja agudde mu kkooti nafiirawo

September 9, 2019 · Mubiru Ali
Kitalo!
Epharaim Kizito 60, omutuuze w’e Nabutiti – Kabalagala agudde nafiira mu kkooti y’omulamuzi w’eddaala ery’okubiri e Makindye. Ono abadde awerekedde Mukyala we Rosemary Kizito gweyeyimirira mu kkooti gyabadde agenze okusomerwa omusango gw’okulumya omuntu ogumuvunaanibwa nga singa guba gumusinze asibwa emyaka 5.
Okusinziira kubabaddewo bagamba nti Kizito yagudde okuva ku ntebe kweyabadde atudde Mukyala we bweyateereddwa mu kaguli omulamuzi John Robert Okipi natandika okumusomera omusango.
Omulambo gwa Kizito gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwekebejebwa okuzuula emkimuse. Omusango gwongezeddwayo okutuuka nga 23-Sept-2019.