Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 151 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Police ekyalemedde emirambo gy’abakuumi b’ Obusinga

November 28, 2016 · Mubiru Ali

Police ekyagaanye okuwaayo emirambo gy’abakuumi okuva mu Businga bwa Rwenzururu 46 abattiddwa mu butabanguko e Kasese.

Abantu bano battiddwa mu kuwaanyisiganya ebyasi wakati waabwe n’eggye lya UPDF mu bulumbaganyi bwebaakoze ku Lubiri lw’ Omusinga w’ Obusinga bwa Rwenzururu mu kibuga Kasese ku lwomukaaga lwa ssabbiiti ewedde.

Olwaleero ku makya ab’enganda z’abakuumi bano babadde ku Police station ย e Kasese okufuba okulaba nga bafuna emirambo nebakottokera busa oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti balina okufuna ebbaluwa okuva ku Police .

Wabula kaakati wetwogerera nga abakuumi b’ Obusinga 139 beebagambibwa okubanga bagombeddwamu obwala mu kikwekweto ekyakoleddwa mu Lubiri lw’ Omusinga era nga batwaliddwa mu kkomera ly’e Katojjo erisangibwa e Fort Portal.