Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Kitalo! Munnamawulire Brenda Gimbo afudde

Kitalo!

Munnamawulire Brenda Gimbo 42 afudde. Brenda abadde atawanyizibwa brain tumor okuva mu January 2016. Ono yatwalibwa e India mu October 2016 okulongoosebwa nakomezebwawo mu January 2017 oluvannyuma lwa Puleziddenti Yoweri Kaguta Museveni okumuduukirira n’obukadde 110 ezaali ez’obujanjabi.

Abadde amulabirira Aidah Naiga agamba nti Brenda yatandika okulumizibwa omutwe mu 2016 ogwamutabukira mu June 2016 natuuka n’okuzirikira mu maka ge mu Trianglw Zone mu Njeru Town Council mu Disitulikiti y’e Buikwe.

Bbaawe Stanley Bukenya ategeezezza nti yafudde lunaku lw’eggulo oluvannyuma lwokusumbiyibwa ekirwadde kya Kkookolo w’obwongo okumala emyaka 4 era nga abadde mu coma okumala emyaka 3 n’ekitundu oluvannyuma lw’okusanyalala oludda olwakkono nga tasobola kwogera yadde okutunula.

Okulwala kwa Gimbo kwajja mu mawulire oluvannyuma lwakavuyo akaliwo mu nsimbi ezamuweebwa Pulezidenti Museveni, eyali omumyuuka wa Ssentebe wa Disitulikiti y’e Jinja Majid Dhikusooka bweyagobwa akakiiko akakwasisa empisa mu Kibiina kya National Resistance Movement – NRM nga kagamba mbu yasaba ensimbi obukadde 20 ku nsimbi ezaweebwayo Pulezidenti nga enjawulo. Ono nga kati ye Mubaka wa Pulezidenti owa Disitulikiti y’e Namayingo bamulanga obukenuzi n’obuli bw’enguzi, okukozesa obubi offiisi ye, wamu n’okukozesa obubi ensimbi wabula bino byonna yabyegaana.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort