Kitalo!
Bbaasi ya Kkampuni ya Link egudde kiromita 2 okuva mu kibuga Fort Portal enkya yaleero ng’abantu abawerako bafudde. Abantu 20 bebakakasiddwa okuba nga bafiiriddewo nga ku bano 13 bantu bakulu nga 7 baana bato, ku bano 20, 11 basajja ate 9 bakazi.
Bbaasi eno nnamba UBA 003S ngebadde edda Kampala egudde Sebitoli ku ssaawa nga nnya n’ekitundu ezookumakya.