Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 1,082 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

Akakiiko ka COVID-19 kasobodde okukungaanya obuwumbi 50

June 29, 2020 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nalagira ensimbi ezaweebwayo abantu okulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19 okweyambisibwa okukola ebintu ebirabwako nga biwangaazi era nga byakujuna Bannayuganda n’Eggwanga lyonna okutwalira awamu so ssi mu bintu ebiggwawo enkya.
Bino byonna Pulezidenti yabyogeredde mu nsisinkano gyebadde nayo n’abali ku National Response Fund to COVID-19 mu State House Entebe.
Akakiiko kano kagenderera okukungaanya obuwumbi 170 wabula nga bakakungaanya ebitundu 30 ku 100 nga bwe buwumbi nga 50 nga ku zino obuwumbi 17 nsimbi nkalu n’ebintu ebikalu ebiwereza ddala obuwumbi 33.
Akakiiko kagamba nti ensimbi enkalu tezinakwatibwako nga ziri ku akawunti kwebabadde bazikungaanyiza mu Stanbic Bank – Uganda ne Treasury Account mu Bank of Uganda.
Pulezidenti yagambye nti ng’ogyeeko okugula emotoka endala, ensimbi ezimu zisobola okukozesebwa okuzimba ebizimbe ebiwangaazi okukozesebwa nga camp ku border points.