Kirumira obadde olwanirira mazima nabwenkanya – Bobi Wine

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu awandiise ku mugenzi Kirumira;

Muganda wange Afande Kirumira, oziikibwa leero ku myaka 35 gyokka. Nkyagezaako okukikiriza nti watiddwa mu bukambwe bwebuti awatali kuswala.

Kyanaku embeera eriwo kati tensobozesa kubaawo kuziika wamu n’emikwano gyange emirala egyattibwa mu nnaku eziyise. Nabadde mu ddwaliro nenfuna amawulire nti okuttiddwa mu bukambwe. Omusango gwebakulanga kwogera mazima, kulwanirira mazima n’okwagala eggwanga lye. Babadde babi nnyo, kino kikolwa kyabukambwe.

Leero nsiibye ntunuulira ekifanaanyi kyetwekubya nga tutudde mu Tundra. Wali otuulidde ddala mu kifo Yasin Kawuma weyali atudde nattibwa abantu betusasula okutukuuma. Nali nakava mu kifo ekyo kyennyini mu ddakiika ntono nnyo ngenda okuwulira nti akubiddwa amasasi gendowooza nti galina kukubwa nze. Nsuubira nali wakufa okusooka ggwe. Naye tulisisinkana olundi.

Ngezezaako okwejukanya byatwanyumya, ebiruubirirwa wamu n’ebigendererwa byetwayogerako okutereeza eggwanga lyaffe nga tusinziira ku bwenkanya n’obumu.

Bakusse leero naye tebakomeza lutalo lw’amazima. Wayimirirawo olw’ensonga. Kirungi okufa nga oyimiriddewo olw’ensonga okusinga okuwangaala nga oky’okulya okifunira ku maviivi.

Wumula mirembe kyali wange. Okomangawo n’otagenda wenna mwana wa Taata. Okomangawo wakiri nga oyita mu ngeri yonna. Tetuggya kuggwamu maanyi muganda wange. Tetuli kuswaza. Tetujja kugwamu maanyi. Tujja kuwangula oba tujja kufa nga tugezaako. Wamula mirembe mu maanyi.

Inna lillahi wa inna ilayhi raji’un

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

64 4 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Ssenjovu Ivan aka Kasagazi Tumbeetu. Tukwagaliza olunaku lw'amazaalibwa olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga Ssenjovu Ivan aka Kasagazi Tumbeetu. Tukwagaliza olunaku lw`amazaalibwa olulungi. ...

8 0 instagram icon