Kikungwe abadde ayimirirawo ku mazima n’obwenkanya – Mao

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Bibadde biwoobe na miranga ku mutala Nabbingo mu Disitulikiti y'e Wakiso nga omubiri gwa Hon. Al Haji Issa Kikungwe gugalamizibwa mu nnyumba yaagwo ey'olubeerera. 

Pulezidenti w'ekibiina kya DP, Nobert Mao asinzidde wano n'ategeeza abakungubazi nti Omugenzi Issa Kikungwe abadde ayimirirawo ku mazima n'obwenkanya awatali kukyukakyuka kwonna. 

Kikungwe yafudde ku makya g'eggulo ku Sande mu ddwaliro ly'e Mengo oluvannyuma lw'okulongoosebwa omusaayi ogubadde gwakwata ku bwongo .

Mao agamba nti Kikungwe nga abadde omuwanika w'ekibiina,  abadde Mpagi y'amaamyi mu kuteekawo enkola ennungamu mu Kibiina kya DP  ey'okukozssaamu ensimbi mu bwerufu era n'okulondoola  nsaasaanya.

Kikungwe yali ku mwanjo nnyo mu kuzimba ekitebe  ky'ekibiina kya DP (Ben Kiwanuka House) era abadde musajja eyesigamwako mu nkola y'emirimu n'ebirala and. 

Yavuganyaako ku kifo ky'obwa Meeya wa Kampala mu kalulu ak'akaggwa akaawagulwa Ssaalongo Erias Lukwago 

Hon. Al Haji Issa Kikungwe yaziikiddwa akawungeezi akayise e Baby mu Disitulikiti y'e Wakiso. Weeraba !

Share.

Leave A Reply