Breaking
News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 237 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Katuntu atabukidde Ababaka abalemesa Zaake okutwalibwa mu Kakiiko ke

October 17, 2023 · Mubiru Ali
Akulira akakiiko akakwasisa empisa n’amateeka mu Palamenti, Hon. Abdul Katuntu avuddeyo natabukira Babaka banne abawakanya eky’Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform MP Zaake Francis Butebi okutwalibwa mu kakiiko akakwasisa empisa ku nsonga z’okuvoola mubaka munne Juliet Ssuubi Kinyamatama.
Abawakanya kino bagamba nti ensonga zaabano zaali bweru wa Palamenti nga tezisaanye kuyingizibwamu Palamenti nga waliwo ensonga enkulu eziruma Bannayuganda ezeetaaga okuteesebwako. Kino Katuntu akiwakanyizza nategeeza nti ababaka basusizza okubeera ba Ssemugayaavu nga wetaaga okubaawo ekikolebwa. Olwaleero akakiiko kano lwekasuubira okutandika okunoonyereza ku nsonga eno.