Breaking
News: Olunaku olwaleero Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda bakunyizza abakungu okuva mu bitongole bya News: Eyaliko Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among olunaku lweggulo yalabiseeko mu lutuula lwa Palamenti oluvannyuma lwenaku 83, ngayita ku mukutu News: Tosubwa concert ya Ray G ku Sunday eno nga 9 August ku kisaawe e Kololo.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 343 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Abasirikale ba UPDF abalabikidde mu katambi nga bakuba omuntu basindikiddwa mu kkomera

December 15, 2023 · Mubiru Ali
Abasirikale b’Eggye lya UPDF 5 abakwatibwa ku bigambibwa nti bebalabikira mu katambi nga bakuba omuntu wabulijjo emiggo eyali agambibwa okubeera omubbi wa piki piki olunaku olwaleero basimbiddwa mu Kkooti ekwasisa empisa eya 505 Brigade Unit Disciplinary Court ebadde ekubirizibwa Lt. Col. ML Kigundu mu Lagot Parish, Mucwini Sub-county, mu Disitulikiti y’e Kitgum.
Abasirikale okuli; Corporal Odong Richard Burton, Private Omara Martine Henry, Private Mongu Acel Sunday, Private Ogwang Denish ne Private Omara Morish bavunaaniddwa omusango gwokutulugunya wamu n’okulumya omuntu ategerekese nti ye Omon Nelson nga 11 December 2023 ekikontana n’akawayiro 312(d) ne 5(k) mu Prevention and Prohibition of Torture Act, 2012.
4 ku bano olunaku olwaleero mu Kkooti yamaggye etudde baweereddwa ekibonerezo kyakusibwa omwaka 1 mu kkomera lya Lira Government Prison era nebagobwa ne mu maggye.