Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

KCCA erambudde obutale obuli ku mbalama za Nalubaale

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA nga kiri wamu n’akakiiko ka Presidential Affairs Committee on Disaster Preparedness balambudde ebifo eby’enjawulo mu kibuga Kampala okulaba engeri gyebeteeseteesemu ku bigwabitalaze oluvannyuma lw’obungi bw’amazzi okweyongera mu Nnyanja Nalubaale.
Ebifo ebirambuddwa kuliko akatale k’e Ggaba, Mulungu, Luzira wamu n’omwalo gwa Port Bell.
Okulambula kuno kulubirira okuyamba akakiiko ne Gavumenti okuvaayo nekiyinza okukolebwa okuyamba abantu bano okusigala nga bakola emirimu gyabwe nga n’obutonde bw’ensi tebutataganyiziddwa.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort