Kayihura awolerezza Police ku byabadde mu Palamenti

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Aduumira Police mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura awolerezza Police ku byabaddewo eggulo mu Palamenti nga Police efulumya ababaka ab’oludda oluvuganya Gavumenti, n’ategeeza nti ssemateeka akkiriza Police ng’eyambibwako ebitongole by’ebyokwerinda ebirala okukozesa amaanyi ag’enjawulo okulemesa obumenyi bw’amateeka.

Kayihura asinzidde mu lukungaana lwa Bannamawulire lw’atuuzizza ku e Kasenyi ku mwalo bw’abadde atongoza wiiki ya Police .

Agamba nti ebyakoleddwa Police biteekebwe ku ye nga eyabadde emabega w’enteekateeka eno kubanga waabaddewo amawulire nga kigambibwa nti waabaddewo ekigendererwa eky’okukuma omuliro ku Palamenti .

 

Share.

Leave A Reply