Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 629 listening Simba FM Live

Pepsi ku kabenje akaguddewo

June 14, 2018 · Mubiru Ali

Olunaku lw’eggulo emotoka ya Pepsi nnamba UBD 061D yafunye akabenje omwabadde canter ne Bodaboda ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu e Nakasongola. Kyanaku abantu bataano bebafiiriddewo omuli ne Emma Kibira nga ono abadde Sound Engineer wa Crown Beverages. Waliwo n’abalala abalumiziddwa era nga bafuna obujanjabi mu ddwaliro lya Laco e Luweero era nga bali mumbeera ewa essuubi nga bajja kuba batwalibwa mu ddwaliro e Kampala.

Crown Beverages Limited enakuwalira wamu nammwe olwa kabenje kano era netuusa okusasira kwayo eri abo abafiiriddwa abaabwe.

Emyeyo gy’abagenzi Omukama Katonda agiwumuze mirembe.

Paddy Muramiira

CEO CROWN BEVERAGES LIMITED.