Kattikiro yetabye mukusaba mu Lutikko e Kitovu

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Katikkiro Charles Peter Mayiga n’Omukyala beetabye mu kusaba kwa Ssekukkulu mu keleziya Lutikko e Kitovu, Masaka.
Okusaba kukulembeddwamu Omusumba w’essaza lye Masaka Serverus Jjumba.
Mu beetabye mu kusaba kuno kuliko, Minisita w’Amawulire era Omwogezi w’Obwakabaka Oweek Noah Kiyimba, Pookino Jude Muleke n’Omukyala, akulira oludda oluwabula Gavumenti Oweek Mathias Mpuuga, Omumyuka wa Pookino, Oweek Mulindwa Nnakumusana, Oweek Mitimbo Gonzaga Kagumba, Ababaka ba Palamenti abava mu bitundu bye Buddu, bannaddiini n’abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo. Oluvannyuma Omusumba Serverus Jjumba akyazizza Katikkiro n’Omukyala, Oweek Noah Kiyimba, ne Pookino n’abagabula keeki y’amazaalibwa.
Share.

Leave A Reply