Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,886 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Abakozi abaggalirwa mu kkolero lya Sun Belt balaajana

November 8, 2020 · Mubiru Ali

Waliwo abakozi mu Kkampuni emu esangibwa mu Namanve eyitibwa Sun Belt nga ekola matundubaali bavuddeyo nebategeeza nti mukama waabwe gwebamanyiiko erya Peter lyokka bweyabasibira mu Factory nabagaana okudda eka.
Abakozi bagamba mbu Munnansi wa China yakozesa omukisa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyalagira nti abakozi basule ku mirimu mu budde bwa lockdown ya COVID-19 okubasibira ku mulimu.
Bano bagamba nti bayisibwa bubi nga nebanaabwe abamu ebyuuma byabasala enagalo naye babajanjabira ku mulimu tebabakiriza kufuluma kuba bayinza obutadde ate nga alina ttenda yamatundubaali agetaagibwa mu bwangu.