Katikkiro Mayiga asisinkanye Tiimu yeggwanga ey’omuzannyo gw’ensero

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Tiimu yeggwanga ey’omuzannyo gw’ensero (Silverbacks) nabeebaza okukiikirira obulungi eggwanga mu mpaka za Afrobasketball ezaali e Kigali Rwanda gyebaamalira ku mutendera gwa quarter finals.
Bakulembeddwamu Mw. Nasser Sserunjogi, Omukulembeze wekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga ekya Federation of Basketball Association.
Kamalabyonna Asibiridde abazannyi entanda eyokubeera nempisa ng’emu ku mpagi ezijja okubayamba okutuuka ku buwanguzi n’okubeera ab’omugaso era eggwanga.
Minisita webyemizannyo mu Bwakabaka Henry Sekabembe Kiberu asabye Gavumenti eteeke ssente mu byemizannyo abavubuka basobole okufuna emirimu.
Share.

Leave A Reply