Katikkiro Mayiga alambudde emirimu gy’okuzimba ebizimbe by’Obwakabaka

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Katikkiro Charles Peter Mayiga alambudde emirimu gy’okuzimba ebizimbe by’Obwakabaka ebyenjawulo wegituuse.
Alambudde ekizimbe Ndiwulira ekiri ku mbuga ye Gombolola ya Makindye Mutuba III, oluvannyuma agenze e Kasangati ku mbuga ye Ssaza Kyaddondo naalambula ekizimbe “OWEMBUYA”, eno gyavudde nayolekera Ssentema ku mbuga ye Ssaza Busiro naalambula ennyumba ezizimbibwa kampuni ya Guoji eyatta omukago n’Obwakabaka okuzimba ennyumba abantu zebasobola okugula ku kibanjampola ate ku bbeeyi ensaamusaamu.
Mu lugendo luno Katikkiro awerekeddwako Omumyuka ow’Okubiri owa Katikkiro Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, Ssentebe wa Bboodi ya Buganda Land Board Oweek Martini Sseremba Kasekende, Ssentebe wa BICUL Omuk. Roland Ssebuufu, Ssenkulu wa Buganda Land Board Omuk. Simon Kabogoza n’abakungu abalala.
Share.

Leave A Reply