katikkiro asisinkanye ba ssentebe ba disitulikiti za Buganda

Katikkiro asisinkanye ba Ssentebe ba LC3, LC5, abakubiriza b’enkiiko za district wamu n’abakulira eby’emirimu ku district.

Ensisinkano eno ebadde ku muganzilwazza era nga yeetabiddwamu n’abaami b’amasaza ga Buganda.

Mu kwogerako gyebali, Katikkiro abasabye baddize obwakabaka ebintu byabwo ebyaddizibwa oluvannyuma lw’endagaano wakati wa Kabaka ne President Museveni mu 2013. Mu byogerwako

Katikkiro era abasabye balekerewo okuguza bamusiga nsimbi entobazi okuzimbamu amakolero, nti kino kijja kusobozesa okukuuma obutonde bwensi wamu n’eby’obugagga bw’eggwanga.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu era Ssaabawolereza, Christopher Bwanika, agambye nti bwebakwataga n’abakulembeze ab’eby’obufuzi, enkulaakulana mu bantu ejja kweyongera.

Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru wa Buganda, Joseph Kawuki ategeezezza nti wabaddewo obwetaavu obwokusisinkana abakulembeze bano kubanga obuweereza bwabwe bugenderera kulaakulanya bantu ba Buganda ate nga bebantu ba Ssaabasajja Kabaka. Agambye nti kino kijja kubayamba okukwatira awamu okutuusa obuweereza eri abantu ba Uganda.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Poliisi esse agambibwa okuba omubbi