Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Kabuleta yakwatiddwa kitongole kya SID – Fred Enanga

Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga ekitongole kya Special Investigations Division bwekyakutte Joseph Kabuleta, naggalirwa. Ono avunaanibwa okuwandiika ebivvoola wamu n’okulengezza omukulembeze w’eggwanga. Kigambibwa nti Kabuleta abadde alina ebiwandiiko byafulumya buli wiiki byayita “Joseph Kabuleta Weekly Rant Returns” era muno mweyayita n’awandiika ku mukulembeze w’eggwanga nga amuyita omuzannyi wa zzaala, omubbi era omulimba ekikontana nakawayiro 25 aka Computer Misuse Act, 2011.

Poliisi era evuddeyo nerabula abo bonna abatera okukikola nti wadde nga ‘Social Media’ yabuli omu wabula erina amateeka agagifuga. Nti era oyo yenna anagikozesa obubi wakuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.

Poliisi akubirizza Bannayuganda bonna okufaayo ku kiki kyebateeka ku ‘Social Media’ kuba ebitongole by’ebyokwerinda byafunye obusobozi obulondoola ebiwandiikibwa ku ‘Social Media” era abo bonna abamenya amateeka bakulondoolwa bakwatibwe.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort