BREAKING NEWS
Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits Observer: The mind at work East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act MBU: Five New Hot Ugandan Music Videos feat. Levixone, Winnie Nwagi, K!mera, Pinky Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Poliisi ekutte basatu

Poliisi mu Disitulikiti y’e Bukwo ekutte abantu 3 okuli Chelop Alfred, Chesur Andrew, Kiplungant Peter kubigambibwa nti benyigidde mu kutta Rev. Neto Augustine 43, nga 29 October 2018 mu kibira kya East Elgon. Kigambibwa nti abatuuze b’e Kapukorosoi bana babadde basindika ente zaabwe mu kibira kya East Elgon okulya nga tezirina azirunda nga ne Rev. Neto y’omu ku bbo era nebakitegeerako nti waliwo abantu abateega ente zaabwe mu kibira nebazibba nebazitunda.

Bonna abana basalawo okugenda mu kibira okukakasa oba nga kituufu, era bwe babatuuka mu kibira nebasanga abasajja 3 era wano banne basatu nebatandika okubagaba nga bwebakuba enduulu ye Rev. Neto natandika okugoba ente nga azizza eka.

Enduulu yasomboola abantu 9 nga bonna balina amajambiya nebayingira ekibira bwebatyo nebasanga Rev. Neto nga agoba ente gwebalowooza nti ye mubbi nebatandika okumukuba nebamwambula n’oluvannyuma ne bamusalako omutwe nebagukweka.

Banne bwebadda nebasanga bano omwenda nebatandika okubanyumiza ekibaddewo era nebababuuza oba nga balabye ku Rev. Neto bonna nebegaana. Basalawo okugenda mu town ne batuuza olukiiko era bano olwamanya nti basse omuntu atali mubbi nebabulawo omu kw’omu.

Abatuuze bakirizza okukola ne Poliisi okukwata bano omwenda abasse Rev. Neto era nekwatako basatu nebakirizza okumutta era nebabatwala omutwe webagukwese negugatibwa ku kiwuduwudu.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply