Jennifer Musisi awadde anamuddira mu bigere amagezi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Nga nnankulu wa Kampala Jennifer S Musisi Ssemakula akomekerezza ekisanja kye sabiiti eno, asabye yenna anamuddira mu bigere okubeera omwegendereza ennyo n’ebintu bya Kampala obutabifutyanka nga bakozeesa office ez’enjawulo.
Ono agamba emyaka omusanvu gyamazze mu ntebe eno afubye okukuuma ebintu ebyamukwasibwa okuli ettaka wakati mukusoomozebwa okwamaanyi n’ebanabyafuzi.
Bino yabyogeredde ku ssomero lya Nakivubo Blue bweyabadde atongoza eddimu ly’okuddabiriza essomero lino n’amalala nga bakyusa ensereka yago ebadde eya Asbestos oba amabaati.

Share.

Leave A Reply