IGP akoze enkyuukakyuka mu Poliisi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Inspector General of Police J.M Okoth Ochola avuddeyo nakola enkyuukakyuka mu basirikale era nalagira nti zikolerawo mbagirawo. Alonze Assistant Commissioner of Police Sarah Kibwika okubeera Commandant wa Professional Standards Unit (PSU). ACP Kibwika abadde Deputy Commandant wa PSU nga ono azze mu bigere bya ACP William Okalany aziddwayo mu Directorate of Human Rights and Legal Services. ACP Kibwika yakolako mu Directorate of Traffic & Road safety.Abalala kuliko; CP Moses Binoga afuuliddwa Administrator wa Oil and Gas Division, nga avudde mu Directorate of Counter Terrorism, ACP Dinah Kyasimire Bugondo asindikiddwa mu Directorate of Human Resource and Legal Services nga Head Legal Advisory Services Department nga agiddwa e Nairobi gyabadde mu East African Standby Force (EASF).

Share.

Leave A Reply