Katikkiro yeetabye mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Mzeeyi Livingstone Ssonko taata W’Owek. Gaster Lule Ntake.

Katikkiro yeetabye mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Mzeeyi Livingstone Ssonko taata w’omubaka mu Lukiiko lwa Buganda Owek Gaster Lule Ntake. Okusaba kubadde ku Uganda Martyrs Church e Katwe. Katikkiro asabye abantu okufaayo okulabirira bazadde baabwe baleme kukopperera byabazungu abatwala bazadde baabwe mu maka gyebalabirira abakadde nebabaleka eyo. Yeebazizza nnyo Oweekitiibwa Gaster Lule Ntake olw’okulabirira Taata we nga alabika bulungi obudde bwonna okutuusa lwavudde mu bulamu bwensi eno.

Omulabirizi we Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira yakulembeddemu okusaba.

Omulangira Kassim Nakibinge, Ssaabaganzi, omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, ne Baminisita ba Kabaka ab’enjawulo, ababaka b’olukiiko kwa Buganda,okusaba bakwetabyemu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ekitongole ekirwanyisa okukusa ebyamaguzi ku Busia – Tororo boader