Hajji Kamoga akwatiddwa kubyekuusa ku byapa 19
Omutunzi w’ettaka mu Kampala, Hajji Muhammad Kamoga akwatiddwa ku bigambibwa nti waliwo ebyapa 19 ebyabantu abenjawulo 19 era nga bamaze ebbanga nga bamuyigga.
Hajji Kamoga okutandika okunoonyezebwa kyaddirira Bannannyini byapa bino okwekubira enduulu mu Kkooti naayitibwa okugendayo awe oludda lwe wabula natalabikako enfunda eziwera, Kkooti oluvannyuma yafulumya ekiwandiiko bakuntumye era nakwatibwa nasooka akuumirwa ku Uganda Police Force e Lubowa.

