Geofrey Lutaaya yenyigidde mu bulungi bwansi

Geoffrey Lutaaya nga muyimbi mu kibiina kya Nu Eagles yegasse ku bantu abasibuka e Kakuuto mu Disitulikiti y’e Kyotera nga bano begattira mu kibiina kyabwe ekya Kakuuto Concerned Citizen’s Forum (KCCF). Bano bali mukaweefube w’okuyonja obubuga obw’enjawulo ne Ssaza ly’e Kakuuto e Kyotera okuggumiza enkola ya Bulungi Bwansi n’okulaba nga tebafuna ndwadde ziva ku bucaafu. Balongoosezza obubuga okuli Ssanje, Kakuuto, Kabonera n’ensalo ye Mutukula nga n’abakulembeze okuli Ssentebe wa Disitulikiti eno Patrick Kintu Kisekulo, Omubaka Robinah Ssentongo, Omubaka Mathias Kasamba n’abalala bangi.

Leave a Reply