Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 256 listening Simba FM Live

Lukwago alumbye omulamuzi Kavuma ku bya woofiisi ye .

April 14, 2016 · Mubiru Ali

Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago ayagala okunnyonnyolwa okuva mu kitongole ekiramuzi ku ddi ensala y’omulamuzi Lydia Mugambe eyamuviirako okuggyibwa mu Woofiisi y’obwa Meeya lwegenda okukoma . 

Kino kiddiridde Omuloodi okulemesebwa KCCA okuyingira Woofiisi ye olw’ekiragiro ekiriwo .

Ng’ayogerako ne bannamawulire mu makaage agasangibwa e Wakaliga mu Kampala , Lukwago agamba oluvannyuma lw’okulemesebwa okuyingira Woofiisi ye ku City Hall , obwanga abwolekezza amyuka Sssaabalamuzi Steven Kavuma amunnyonnyole .

Lukwago agamba nti agondedde nnyo  ekimala ebiragiro ebibadde bimuweebwa naye mpaawo kikyuse ekiraga nti Gavumenti eyagala kulaga nti Lukwago ebyamuggyisa mu woofiisi byali bituufu songa kooti yasala nti yaggyibwayo mu bukyamu .