Breaking
News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj. News: Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority URA kyavuddeyo nekyanika omukozi wakyo, Sozzi Geoffrey News: Minisitule yebyentambula ngeri wamu ne Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka batandise okukebera emotoka ennene okukakasa nti zisaanidde
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 363 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Kitalo! ttipa esse 8 e kyenjojo

March 1, 2019 · Mubiru Ali

Emotoka ekika kya Ttipa nnamba UAU 684C egudde netta abantu 8 n’abalala abawerako nebagendera ku bisago ku kyalo Kyenjojo ku luguudo oluva e Hoima e Kaiso Tonya. Kigambibwa nti eno ebadde edduka emisinde mizibu bwetyo neremerera ddereeva waayo n’egwa.

Ttipa eno ewabye ne yeefuula emirundi egiwera n’oluvannyuma ne yeesulika. Abafudde kuliko; Vincent Wamani, Patrick Businge ate abalala tebategeerekese n’abalala babiri abasimattuse nabo tebategeerekese mannya. Mu kabenje kano bakutuseeko emikono n’okumenyeka amagulu.

Omwogezi wa Poliisi mu Bugwanjuba, Julius Allan Hakiza ategeezezza nti, abatuuze be Kyenjojo awaagudde akabenje kano, beekozeemu omulimu nga bakozesa ejjambiya n’ebirala ne batema ttipa eno okuggyamu abaabadde mu maaso era be baasobodde okutaasa ddereeva n’omuntu omulala. Abaafudde bonna baabadde mabega era bano yabawandudde nga bw’ebalinnyalinnya ne bafiirawo.

Abaawonye baatwaliddwa mu ddwaaliro eddene e Hoima.
Ttipa eno yabadde etwala bbulooka e Kaiso okumpi n’ennyanja Muttanzige (Albert) nga baziggye e Mwendante mu ggombolola y’e Kitoba mu disitulikiti y’e Hoima.