Gen. Evariste alayizibwa leero

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Pulezidenti wa Burundi omulonde Gen. Evariste Ndayishimiye wakulayizibwa olunaku olwaleero nga ekyabula emyezi 2 nga bwekyali kitegekeddwa.
Kino kyazzeewo oluvannyuma lwa Pulezidenti Pierre Nkurunziza okufa ekibwatukira. Gen. Ndayishimiye naye yali muyekera nga Nkurunziza.
Okusinziira ku Ssemateeka wa Burundi, singa omukulembeze afa nga akyali mu ntebe, Pulezidenti wa National Assembly nga kati ye Pascal Nyabenda, yayendibadde akulembera. Wabula oluvannyuma lwa Kkooti ya Ssemateeka okusalawo eggoye Gen. Ndayishimiye wakulayizibwa mu kibuga Gitega ng’omwezi gw’omunaana tegunatuuka.

Share.

Leave A Reply