Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 124 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Eyeekasuka okuva ku Mabiriizi asingisiddwa omusango

September 30, 2016 · Mubiru Ali

Omuvuba Mustapha Lule myaka 17 eyabuuka okuva ku kizimbe kya Mabirizi eky’emyaliiro etaano mu Kampala, asingisiddwa omusango gw’okugezaako okwetta wabula asonyiyiddwa obutasibwa naye ng’alabuddwa . 

Omusango guno gubadde guwulirwa omulamuzi akulira kkooti ento eyokuluguudo Buganda,  Gladys Kamasanyu.

Omu ku baalumirirwa omuvubuka ono ate nga ye Nannyini  Galagi ekanika Land Rover esangibwa e Najjera eyawelekera omuvubuka ono mu m kkooti , omwami James Alemi agamba nti omulamuzi alagidde Lule asooke yeddeko.

Kinajjukirwa nti nga ennaku zomwezi 03 Mutunda, Lule yeesuula okuva ku kizimbe kya Mabiriizi n’agwa ku mmotoka nga agamba nti yali agobeddwa ku mulimu nga talabawo nsonga yonna lwaki akyali ku nsi eno ewoomera abalala ng’ettungulu. 

Kino nno kyakwata ku bantu bangi era nebafuna ennyiiko nga babadde bagoberera ensonga eno.