GAVUMENTI YANDIWALIRIZIWA OKUGGALA KAMPALA

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Gavumenti evuddeyo netegeeza nti essaawa yonna tejja kulonzalonza kuteeka ekibuga Kampala kyonna ku muggalo naddala singa abasuubuzi abakolera mu Arcade bagaana okuteeka mu nkola ebiragiro (SOPs) ebyateekeddwawo okulwanyisa okusaasaana kw’ekirwadde kya Ssenyinga omukambwe owa #COVID-19.
Olunaku lw’eggulo Akakiiko akakwasibwa eddimu ly’okulwanyisa obulwadde bwa COVID-19 nga kano kakulirwa Omubaka wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni owa Kampala Hussein Hood nga ali wamu n’abakungu okuva mu Kampala Capital City Authority – KCCA bakedde kulambula bizimbe mu Kampala wamu ne ppaaka za Takisi.
Akakiiko kakizudde nti abantu bangi balemeddwa okugoberera ebiragiro bino omuli; okulekawo ebbanga, okwambala mask nokunaaba engalo ekitadde abantu mu matigga.
Share.

Leave A Reply