GAVUMENTI EYONGERE AMAANYI MUKUSOMESA ABAANA KU YINTENEETI

Gavumenti esabiddwa okwongera amaanyi mu kusomesa abayizi nga eyita ku mitimbagano kuba ly’ekkubo lyokka erijja okuyamba okukuumira abaana abali awaka mukumanya mu kiseera ky’omuggalo.
Bino byogeddwa akulira essomero lya Kampala Parents’ School Daphine Kato. Ayongedeko nti kisaanidde abayizi bonna omuli abali mu masomero gabonna basome n’agobwanannyini okusigala nga basoma wabula nga kino Gavumenti erina okukiteekamu omukono gwaayo nga eyambako amasomero n’ebyetagisa.
Kato okwogera bino abadde ku mukolo ogw’okukwasibwa ebyavudde mu bigezo bya P.7 nga abayizi 129 ku 186 abatuula ebigezo omwaka oguwedde bayitidde mu ddaala erisooka nga bafunye bubonero 4 – 6.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply