akwatiddwa lwakubba bawala bakwana

Sseremba Wasswa oluusi yeeyita Nsubuga, mutuuze w’e Najjanankumbi yakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’omuwala gwe yabbako ensawo okugenda ku Poliisi e Lubowa naggulawo omusango nga bwe yabbiddwa abaserikale ne batandika okumunoonya.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, okukwata Sseremba kyaddiridde okulondoola essimu gye yabba ku muwala gwe yasanga mu Club Ambiance e Bukesa ne bagizuula ng’eraga nti eri Najjanakumbi abaserikale abanoonyereza ku buzzi bw’emisango ne bagenda yo ne bamukwata.

“Wabaddewo omusajja abadde akwana abawala baasanga mu bifo ebisanyukirwamu n’ababbako ensawo zaabwe ez’omu ngalo n’abula oluvannyuma lw’okubalimba nga bw’agenda okubatwalako wabula n’abaddukako” Owoyesigyire bwe yategeezezza.

Yagambye nti omuwala eyakwasizza Sseremba yabuulidde abaserikale ku poliisi e Lubowa nga bwe yamusanga mu Club Ambiance nga December 21, 2018 n’amukolako omukwano, bwe baali bafuluma yamutegeeza nga bw’agenda okumuvuga mu mmotoka era n’amusaba amukwatire ku nsawo ye n’amutwala e Najjanankumbi.

Yamuleka mu paakingi ng’amulimbye nti agenze kunona bisumuluzo bwe yagenda n’ensawo eyalimu essimu ne wallet eyalimu emitwalo 15 n’ebintu ebirala teyadda.

Yategeezezza nti okusobola okumukwata omuwala yafunye munne ne basobola okulondoola essimu era abaserikale ne bagendayo ne bamukwatira mu muzigo mwabadde asula ogusangibwa mu Namuli Zooni.

Yagambye nti abaserikale baasazeewo okwaaza omuzigo gwa Sseremba ne basangayo ensawo z’abakazi nnya, essimu z’omu ngalo musanvu, layini z’essimu 67, olupapula okwabadde nnamba z’essimu 17, densite z’abakazi ttaano ne kkaadi ya ATM, Ttivvi emu n’engoye z’abakazi era poliisi yamutadde ku nninga ayogere engeri gye yabifunamu.

Densite ezazuuliddwa ziri mu mannya g’abakazi okuli; Rebecca Nakyoni, Shakira Namugerwa, Shirah Babirye ne Erina Nakintu.

Yagambye nti poliisi yaakafuna abawala basatu abaakavaayo ne balumiriza Sseremba nga bwe yababbako ensawo zaabwe.

Sseremba akuumirwa ku poliisi e Lubowa oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’obubbi oguli ku fayiro nnamba CRB 209/2018 ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w'omukulembeze w'Eggwanga era Omduumizi w'Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50.

Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w`omukulembeze w`Eggwanga era Omduumizi w`Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50. ...

3 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w'ekyaasa akola Program Emboozi y'omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w`ekyaasa akola Program Emboozi y`omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi. ...

0 0 instagram icon
Afande embeera emutabuseeko naalajana!

Afande embeera emutabuseeko naalajana! ...

12 1 instagram icon
Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

7 0 instagram icon
Mugiriko 🔥🔥🔥🤟🤟 Now 97.3 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #MoneyLender Be Uganda #SuremanSsegawa Atandise Now
#registerwithnvamubendefamily
#RadioSimba973

Mugiriko 🔥🔥🔥🤟🤟 Now 97.3 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #MoneyLender Be Uganda #SuremanSsegawa Atandise Now
#registerwithnvamubendefamily
#RadioSimba973
...

1 0 instagram icon