Bobi Wine togeza noggyayo omusango mu Kkooti – Bannamateeka ba NRM

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Bannamateeka ba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni eyakwatira National Resistance Movement – NRM bendera ku kifo ky’obwa Pulezidenti nga bakulembeddwamu akulira eby’amateeka mu Kibiina kya NRM Oscar Kihika bagamba nti singa Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine yetantala okuggyayo omusango agenda kuliyirira Pulezidenti Museveni wamu ne Bannamateeka be ensimbi mpitirivu nga bagamba nti abamalidde obudde.
Bano era bamulabudde nti asaanye okukimanya nti omusango nga guno tegumala gagibwayo nga toyise mu mitendera.
Olowooza otya ku kya Bannamateeka ba NRM okulabula Kyagulanyi obutaggyayo Musango gweyawaabira Pulezidenti Museveni kuba bajja mutanza ssente nyingi?
Share.

Leave A Reply