Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 253 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Gavumenti eteese n’Abasomesa okusinga okubatiisatiisa – Hon. Allan Mayanja Ssebunya

July 1, 2022 · Mubiru Ali
Omubaka wa Nakaseke Central County Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Allan Mayanja Ssebunya olunaku olwaleero akyaliddeko ku Masomero ga Gavumenti mu kitundu kyakiikirira mu kaseera kano nga Abasomesa bakyediimye. Avuddeyo nategeeza nti embeera abayizi gyebayitamu betaaga essaala mu kaseera kano nga abasinga tebakyatawana kulinnya ku masomero kuba nebwagendayo tebasoma nga nabo abagendayo bebuuza ekiba kibatutteyo. Ayongeddeko nti abalala abasanze mu maka g’abakadde baabwe nga babayamba ku mirimu.
Hon. Ssebunya agamba nti abasomesa kyebasaba kituufu, okwongeza abasomesa ba Ssaayansi nakyo si kibi, wabula abasomesa bonna bandyongezeddwa bonna wamu. Abasomesa ba Ssaayansi tebasaanye kujaganya olwokwongezebwa, wabula okulwanirira nebanaabwe.
Ayongerako nti Gavumenti erina okuvaayo eteeseganye n’abasomesa baddeyo basomese abaana b’eggwanga okusinga okubatiisatiisa.