Gavumenti esazeemu liizi ku ttaka lya URC – Palamenti

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Palamenti evuddeyo neragira Gavumenti okusazzaamu ebyapa byonna ebya liizi zeyagaba ku ttaka ly’ekitongole ky’eggaali y’omukka ekya Uganda Railways Corporation. Kino kidiridde akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku kulondoola ebitongole bya Gavumenti aka COSASE nga kano kakulemberwa Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Joel Ssenyonyi okuvaayo ne alipoota ku kunoonyereza kwekakola neteraga nga bboodi z’ebyettaka mu Disitulikiti ez’enjawulo okuli; Kampala, Jinja, Mbale, Gulu, Nwoya, neUganda Land Commission bwezatondawo liizi ezamankwetu ku ttaka ly’ekitongole ky’eggaali y’omukka.
Share.

Leave A Reply