Gavumenti egoberere amateeka ng’ekola kubagivuganya – Katikkiro Mayiga.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Gavumenti okugoberera amateeka ng’ekwata ensonga z’abagivuganya.

Mayiga ayongerako nti n’abali mu Gavumenti amateeka gayinza okubeefuulira nti era amaanyi tegalya.

Katikkiro okwogera bino abadde mu Lutikko e Lubaga mu Misa y’okukuza amazuukira ga Yesu Kulisitu ekulembeddwamu Ssaabasumba wa Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga. Okusaba kwekumu kwetabiddwako Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu masomero ga pulayimale Dr. JC Muyingo nga yaakiikiridde Gavumenti.

Leave a Reply