Breaking
News: Wuuno omusajja atanywa guteeka, muganzi we Side Dish mukazi we atali mu maka amuggyeeko ekyalaani kye yamugulira lwakufuna lubuto lutali News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka?
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 129 listening Simba FM Live

Abantu ba Ssaabasajja okuva mu ggombolola Mutuba IV Masekkati bakyaddeko embuga

December 8, 2022 · Mubiru Ali
Abantu ba Ssaabasajja okuva mu ggombolola Mutuba IV Masekkati mu ssaza Kyaddondo, olukiiko lwa KCCA olukulemberwa Loodi Mmeeya Erias Lukwago ne Mutuba VII Lwengo mu Buddu bakiise embuga n’oluwalo lwa nsimbi obukadde 16 n’emitwalo 60.
Batikuddwa omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa mu Bulange e Mengo.
Erias Lukwago agambye nti wakulwanirira ebintu bya Buganda ebikyali mu kitongole kya KCCA okulaba nga bikomezebwawo mu Bwakabaka era neyeyama ku lwa banne okugogola ennyanja ya Kabaka nti balinze bulinzi kigambo kya Katikkiro batandikirewo.