Ffeffekka bamulombedde edduwa eyenaku 40

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Olwaleero lweziweze enaku amakumi 40 bukyanga eyali Ssentebe wa Disitulikiti y’e Kayunga Munnakibiina kya National Unity Platform Ffeffekka Sserubogo Muhammadi ava mu bulamu bwensi.
Amyuuka Imaam womuzigiti gwe Kitatya mu Gombolola ye Kitimbwa Shiek Kigongo Shaban yakuliddemu okusoma edduwa eyenaku 40.
Allah omwoyo ggwe aguwe ekiwummulo eky’emirembe, amugaziyirize kabuli, amusonyiwe byonna ebyamusobako ku Nsi ng’omuntu ate amusasule musera mwebyo nyeyatuukiriza. Amiina

Share.

Leave A Reply