col. nduhura ateereddwa ku kakalu ka kkooti

Eyali Director wa Crime Intelligence mu Poliisi, Col. Atwooki Ndahura ateereddwa ku kakalu. Ono avunaanibwa okukaka Bannansi ba Rwanda abaali banoonya obubuddamu nebabazaayo e Rwanda.

Lt. Gen. Andrew Gutti amuwadde bail kubukwakulizzo nti talina kusukka Kampala ne Wakiso okujjako nga akiriziddwa Kkooti. Ono awaddeyo akakalu akatali kabuliwo ka bukadde 10 ate abamweyimiridde nebawaayo obukadde 5 obutali bwabuliwo.

Col. Nduhura avunaanibwa ne Gen. Kale Kayihura, Herbert Muhangi, Nixon Agasirwe, Jonas Ayebaza, ABel Kitagenda wamu ne Patrick Muramira. Col. Nduhura nga ayita mu Munnamateeka we ateegezezza nga bwali omulwadde wa ssukaali wamu ne puleesa nga yetaaga okulaba omusawo we. Ono abadde amaze enaku 210 mu kkomera ly’amaggye e Makindye.

Ono yeyimiriddwa abantu bana nga kuliko abasirikale ba UPDF okuli; Maj. Gen. Apollo Kasita, Col. Francis Kashaka, Col. Wilson Kaleba,  wamu n’Omubaka wa Ruhinda County Rtd Capt. Donozio Kahonda akakasiza Kkooti nti ajja kumuzza mu kkooti.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Brig. Mayombo died a natural death – Says Museveni .