Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 1,160 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

AKAKIIKO KA PALAMENTI KALAGIDE BRIAN WHITE AKWATIBWE

May 6, 2021 · Mubiru Ali
Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku Ddembe ly’obuntu kamalirizza alipoota kukunoonyereza ku kutulugunya wamu n’okusobya ku bawala nga kigambibwa nti byakolebwa Brian Kirumira AKA Brian – White. Ono yawabirwa Stella Nandawula, Vivian Mutanda, Leticia Nabulime n’abalala.
Akakiiko kagamba nti obujulizi obwaweebwa Hon. Kibalya, Ms. Rhona Babwetera, Ms. Namutebi, Ms. Esther Ndawula bwali bukwatagana bulungi. Akakiiko kagamba nti olwokuba Leticia Nabulime yali wamyaka 18 kiba kitegeeza yasobezebwako Brian White.
Akakiiko kagamba nti kakizudde nti Brian White yawaliriza nga abawala bano okuggyamu embuto ekyakolebwa abawala 3 nti era yasasuliranga ekikolwa kino, okubawa entambula wamu ne Uganda Police Force ababakuumanga nga bagenze okuziggyamu.
Abaana bano baggalirwa mu nnyumba okumala ebbanga erissukka omwaka, kino Poliisi teyavaayo kukinoonyerezaako yadde okubanunula.
Akakiiko kagamba nti Brian White akwatibwe mbagirawo avunaanibwe emisango gyokukabasanya abawala.
ย 
#PlenaryUg